Lyrics
Musituke tuwereze ebirabo Omukama, (musituke)
ffe tuwereze ebirabo Omukama;
musituke tuwereze tuwereze,
musituke tuwereze tuwereze ebirabo Omukama abisiime.
Omugaati n'evviini biibyo, tubitaddewo biibyo ebyaffe;
abaana bo laba ffe tubikwasa Ggwe;
Omuzirakisa Katonda Ggwe owaffe, bikkirize.
Ggwe omusaasizi siima ebyaffe, bituviiremu eneema enfaafa.
Bye tukuwereza ffe abaana bo aboolo.
Olw'obulungi bwo, Katonda Ggwe owaffe, Ggwe'bisiime.
Ebya Melekisedeeki ow'edda, oyo kabona wo omukulu ow'edda.
Yabikuwereza ku luli n'obisiima.
Kye tusaba kati n'ebyaffe bikkirize, o'bitwale.
Amakula go gaago Taata, tugagatteko emitima egyaffe.
Ggwe Tiriniita Katonda omu ati;
Ffe abaana bo laba kati ffe twewa Ggwe, o'tutwale.
Kye tukusaba siima ebyaffe, bye tuwereza n'Ono Kristu;
tumweyune era tumulye, tumweyanze;
Ky'eky'okulya ky'eky'okunywa kye twegomba Ye Yezu.
Kelezia wo Taata yamba; omuyiweko enneema enfaafa.
Ng'omutukuza ng'omwongera amaanyi,
Ng'omuliisa ng'omwongera ettendo, Ggwe'muyambe.
Agulumizibwe Taata owaffe; agulumizibwe Yezu omwana,
N'Omuganzi Mwoyo oyo ow'ettendo,
Ggwe Tiriniita Katonda Ggwe owaffe Ggwe'tutwale.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen and learn your part
Press Play to hear the score. Untick the other voices to hear only your own part, and slow the tempo while you learn it.