Tukuwereza Ekikompe (Zabuli 50)

Composer:

Lyrics

Chorus

Tukuweereza ekikompe eky’obulamu
Ggwe Omutonzi w’ensi, kiikino kisiime;
Ggwe Omusaasizi atasingika, kiikino, kisiime;
Ffe abali wano, n’ensi yonna, kitulokole.

Chorus

(Mu Bwekisiibo)

1

Nsaasira, ayi Katonda, ng’ekisa kyo bwe kiri,
Olw’okusaasira kwo okungi ennyo,
Sangulawo ekyonoono kyange.

2

Nnaalizaako ddala omusango gwange nze:
Era ntukuzaako, ekibi kyange kyonna.

3

Kuba ekyonoono kyange nkikkiriza nze:
Ekibi kyange bulijjo, nze sikiggyaako na liiso.

Chorus

(Mu Bwomwaka)

1

Ensi zonna mugulumize Omukama
Muweereze Omukama mu ssanyu,
Muyingire gy’ali nga mujaguza.

2

Mumanye ng’Omukama ye Katonda waffe
Yennyini ye yatukola tuli babe ddala,
Ggwanga lye, ate ndiga za ddundiro lye.

3

Muyingire mu miryango gye nga mutendereza,
Mu mpya ze, nga muyimba,
Mutendereze mugulumize erinnya lye.

4

Anti Omukama mulungi, okusaasira kwe kwa mirembe gyonna
Obwesige bwe bwa mazadde na mazadde.

93

TUZZE TUKUTONERE (Benedicto Lubega)

Chorus

Tuzze .........................Gy’oli Mukama Katonda
Tujja ..........................Tukutonere bye tulina
Ka tutoole ku ebyo by’otuwa, tukuddize Lugaba asinga
Tuzze .........................Gy’oli Mukama Katonda
Tujja ..........................Tukutonere bye tulina
Tukuddize ku ebyo by’otuwa, tukwebaze Lugaba asinga
Siima, twala, siima bye tuleeta
Twala, siima, twala bino bye tukuwa.

1

Ggwe atwagala Ddunda, wamma osaana, Tukwebaze olutata
Okutukola Ddunda n’otubumba, tetwasaba wamma olamula,
Kye tulina: Tukwebaze Lugaba asinga.

2

Watugabula ensi eno, wamma osaana, Tukwebaze olutata
Ffe nga tulya ebingi by’otuwa, otujjuza wamma ogabula,
Kye tulina: Ka tukwebaze Lugaba asinga.

3

Watujjuza Taata wamma osaana, tukwebaze entakera
Ffe tetujula Ddunda by’otuwa, ng’otujjuza wamma otumala,
Kye tulina: Tukwekole Lugaba asinga.

4

Ka tukuddize Mukama wamma osaana, Ggwe atwagala bw’otyo
Ebirungi byonna Ggwe by’otuwa, ng’otujjuza wamma otumala,
Kye tulina: Tukwebaze Lugaba asinga.

5

Ggwe atwagala Mukama wamma ogwana, tukuddize Ddunda
Ku birungi byonna Ggwe by’otuwa, ng’otujjuza wamma otumala,
Kye tulina: Tukwebaze Lugaba asinga.

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.