Mu Nfuufu Mw’olidda

Composer:

Lyrics

Chorus

Muntu ggwe oli nfuufu
Muntu ggwe oli nfuufu
Mu nfuufu omwo mw’olidda.

1

Omubiri obubiri ogwo gw’obiita,
Gwa kuvundira ddala ddala ogwo gw’obiita!
Guggweewo gubule, guggweewo gwonna!
Okusuubira kwaffe kwe kuzuukira ffenna,
Kristu eyezuukiza yekka, naffe alituzuukiza.

2

Emikwano gy’oku nsi kuno n’ennganda,
Obugagga bw’oku nsi kuno n’obwami,
Ng’obireka byonna aaa! Ng’ogenda wekka.
Okusuubira kwaffe kwe kuzuukira ffenna,
Kristu eyezuukiza yekka, naffe alituzuukiza.

3

Obulamu obw’oku nsi eno bw’oyagala
Bwa luwunguko ddala ddala owoluganda,
Ggw’asanyuka leero oo! Amangu ago ofa, aa!
Okusuubira kwaffe kwe kuzuukira ffenna,
Kristu eyezuukiza yekka, naffe alituzuukiza.

4

By’okunngaanya owoluganda,
Obirekerera n’ogenda
Ogenda wekka aa! Obireka byonna aa!
Okusuubira kwaffe kwe kuzuukira ffenna,
Kristu eyezuukiza yekka, naffe alituzuukiza.

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections