Leka Mbajjukize

Composer:

Lyrics

Leka mbajjukize ebikuuno by'Omukama by'akoze, leka mbajjukize.
Ka nze mbimenye ebikuuno by'Omukama by'akoze, leka nze [mbimenye ddala?] bya ttendo.
Ka byogere ebikuuno by'Omukama by'akoze, leka byogere;
leka mbajjukize, leka mbajjukize, leka mbajjukize.

Wulira Ddunda yayogeranga bwogezi,
byonna ne bibaawo, byonna ne bikolebwa, byonna ne bibaawo.
Wulira, ndeeta, ebitonde byonna ne bimugondera,
byonna tebyanyega, byonna ne bibaawo.
Wulira ndeeka bwejja netunuulira ebintu,
n'ebyo by'akola Mukama,
bijjudde, bijjudde, bijjudde ekitiibwa kye.
Mukama tawanga mulala, (kutottola)
Mukama tawanga mulala kutottola bikuuno by'akoze byonna;
Bamalayika nabo tebabimanya.

Omukama Ddunda asinga byonna,
Omukama Ddunda asinga byonna nga binywevu.
Nga binywevu byonna, Mukama Katonda by'akoze,
nga binywevu byonna Ddunda bye yakola byanywera.
Ye aggyemu ekitiibwa eky'obukulu bwe,
ekimusaanira olw'amagezi ge enkumu.

Masuffu.
Omutima gwaffe gwonna yagupima dda
n'alaba n'amakubo gaabyo agakyamakyama.
Ali waggulu ddala amaanyi ebibaawo,
ategeera byonna,
n'obudde amaanyi gye budda, bwo kye butegeeza
akimanyi kyonna.
Alangirira ekiyise, n'ekiribaawo
n'akwekula byonna abantu bye bakwese.
Ky'ekyo, teri kirowozebwa kyonna kimuwubira,
teri, teri, teri kyogerwa kyonna natakimanya,
natakimanya, natakimanya Mukama waffe,
eby'ekitalo bye yakola n'amagezi ge,
y'abiwa engeri entuufu gye bigendamu.

Mukama muyinza, abeerawo emirembe,
Mukama mulungi, abeerawo emirembe gyonna,
takyuka, takyuka n'akamu,
talina ky'ayongerwako,
talina kyakendeera,
asigala nga takyuse emirembe gyonna.
Ye, teyetaaga amubuulira,
Ye teyetaaga mulangirizi.

Byonna by'akola, byonna biramu,
byakubeerawo emirembe gyonna,
gyonna nga bimugondera,
bimuwereza emsana n'ekiro.
Byonna, byonna, byonna, by'akola birungi.
Byonna, byonna, byonna biugondera.
(Ebintu byonna,) byonna yakola kinnababirye
kino na kino, kiri na kiri,
teriyo kyakolwa nga tekituuse,
nga tekituuse obulungi nga tekituuse.

Byonna byatuukirira Ye nga bwe yateesa.
Ekitiibwa kye kimu kijjuliriza ekirala.
Ani? atunuulira ekitiibwa kyooyo n'anyiwa?
Twandigambye bingi kyokka bikoma kumpi.
Ebikuuno by'Omukama tebirojekka,
okufunza byonna mpozzi twogere nti:
"Ye ye nnanyini byonna, Ye ye byonna".
Ye tugaggyewa agamala amaanyi
okutenda Mukama Katonda?
Assukkulumye emirimu gye egyo
atiisa nnyo ebitonde byonna;
mugulumivu, akira ebitonde,
yewunyisa nnyo mu bukulu bwe.
Mutende, mutende, mutende Mukama mmwe nno abawereza be,
mumussukkulumye nga mmwe bwe musobola,
kyokka byonna abisingira ddala wala,
ne bw'omutenda n'amaanyi gonna.
Byonna ebyo abisingira ddala wala,
eyali amulabye simunnyonnyole,
eyali amulabye amutottole?
Anamutenda n'amalayo anava wa?
Bye tulabako busammambiro,
busammambiro, busammambiro
ebitonde byonna anti Ye yabikola.

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.