Kristu Avuddeyo Amyansamyansa

Composer:

Lyrics

1

Eyefuula omuntu n'akka, n'abeera ewaffe ku nsi,
N'attibwa ku lwaffe abantu, leero azuukidde.
Luwangula Kristu omuzira amegguzza (sitaani)
Olwaleero, leero tununuddwa.
Kristu avuddeyo amyansamyansa, ng'ayakayaka Yezu atangalijja
Kristu avuddeyo amyansamyansa, Alleluia

2

Olwaleero twenyumiriza, anti walumbe asingiddwa
Olwaleero tumukulisa nnyo, Kristu awangudde.

3

Eggulu n'ensi bisagambiza lwe Yezu Kristu omuwanguzi
Eyafa luli ku musaalaba, wuuno azuukidde.

4

Madalena akedde n'abalala ku ntaana bazze okuziraga
Babuliddwa anagyawo ejjinja, so Yezu yagenze dda.

5

" Bakazi mmwe munoonya ani?" "Tunoonya Yezu eyaziikiddwa"
Taliimu muno anti takyali mufu, Yezu azuukidde.

6

Mugende mugambe era abatume be nti e Galiraya gyebaba balaga
Bamusangeyo gyeyabesoose anti bweyayogera.

7

Emirembe kummwe gibeera, nze nzuuno mmwe nno temuntya
Kambalage ebibatu, n'ebigere, anti nzuukidde.

8

Olwokuba ye okuzuukira nga n'obwaffe bukomye ku nsi
Tuli bagumu tulizuukira....Alleluia.

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.