Lyrics

Chorus

Mmwe kitangaala ky’ensi, mmwe kitangaala ky’ensi,
Mmwe kitangaala ekyaka,
Mwakirenga mu nsi muno balabe ebikolwa byammwe ebirungi
Balabe ebikowa byammwe ebirungi,
Batende Kitammwe (Kitaffe) ali mu Ggulu atudde.

1

Beera musomi atakyukakyuka mu ddiini yo entuufu
Beera musomi atuusa eddiini yo,
Omulamu, (omulamu) mu Katonda,
Omutume, (omutume), ayigiriza abalala,
Eyenyigira mu mirimu gyonna egy’Eklezia etinta.

2

Beera musomi ali mu Katonda, mu Mwana we Yezu,
Beera musomi atuusa by’asaba,
Mu kukola, mu bulumi ogumanga,
Mu bulamu, mu maziga, ayigiriza abalala abeewanika,
Okuleka byonna n’ogoberera Yezu.

3

Beera musomi atajuza n’omu eyeeyuna gy’oli,
Beera musomi atuusa okwagala,
Asobola, ayagala okuyamba abanaku, abanaku ng’obayamba
N’obuzira obw’enjawulo
Mu bizibu byonna talikujuza Yezu.

45

MUJJE ABAAGALWA (Fr. Expedito Magembe)

Chorus

Mujje abaagalwa, - Mujje be mmanyi,
Mujje ewa Kitange - Mu bwakabaka bwe. x2
Mujje ab’omukwano - Mujje mmwe
Kubanga mwanjuna nze - Ku nsi kuno:
Obulamu n’ekitiibwa - Byonna ebyo
Kitange anaabaweera - Mujje mmwe.

1

Nga ndi muyala mwampa ekyokulya, mwampa ekyokunywa bannange
mwannyamba.
Nga ndi mugenyi mwansuza, mwankumaakuma bannange mwannyamba.

2

Nga ndi bukunya mwandabirira, mwampa ke mulina bannange mwannyamba.
Nga ndi musibe mwandabirira, mwankumaakuma bannange
mwannyamba.

3

Nga ndi ku ndiri mwanzijanjaba, mwambudaabuda bannange mwannyamba.
Nga ntaawa mwankumaakuma, mwambudaabuda bannange
mwannyamba.

4

TULYEWUUNYA NE TWEBUUZA NTI
Twakulaba ddi ne tukuyamba?

Chorus

OMUKAMA ALIDDAMU:
Buli ky’okolera omu ku baliwo
Buli ky’okolera banno b’olina
Buli ky’okolera abo oba okikoledde nze.

Chorus

Mujje abomukwano Mujje mmwe
Kubanga mwanjuna nze Ku nsi kuno
Obulamu n’ekitiibwa Byonna ebyo
Kitange anaabaweera Mujje mmwe.

Chorus

Mujje abaagalwa mujje be mmanyi,
Mujje ewa Kitange mu bwakabaka bwe.

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.