AKOMAWO KRISTU OW’OBUYINZA
AKOMAWO KRISTU OW’OBUYINZA (Fr. James Kabuye)
Ekidd: Akomawo Kristu n’obuyinza alebaaleba Kristu mu bire x2
Jjangu Omulokozi atwesiimya, jjangu, jjangu otubbule,
Jjangu Omulokozi atwesiimya, jjangu, jjangu
- Omuwanguzi ajja, Kristu omulangira, atuuka
Atuuka, mulabe ajja, Omununuzi kabaka ajja,
Katonda waffe aja, mugume mmwe atuuka.
Katonda waffe ajja, abataase abaweere.
Abanjule eri kitammwe mmwe abaana be.
- Omuwanguzi ajja, Kristu omulangira atuuka,
Owaffe, mutakyuuka, mmwe abamumanyi temutya mmwe.
Katonda waffe ajja, mugume mmwe alijja,
Katonda waffe ajja, abaweere, abataase
Abanjule eri kitammwe abaagala.
- Omuwanguzi ajja, wuuno omulangira atuuse,
Atuuka, mulabe ajja, Ggwe omununuzi yimuka ojje
Katonda waffe ajja, mugume mmwe atuuka,
Katonda waffe ajja, atutaase, atuweere,
Atwanjule eri kitaawe ffe abaana be
DOWNLOAD LINK:
0 Comments