GGWE KATONDA W’ENSI JJANGU OTULOKOLE

GGWE KATONDA W’ENSI JJANGU OTULOKOLE (Fr. James Kabuye)

  1. Ggwe Katonda w’ensi jjangu otulokole,

Kristu Katonda alijja jjangu otulokole

 

  1. Ggwe Katonda w’ensi tosunguwala sonyiwa ebibi byaffe,

Jjukira ekibuga kyo kisigadde ttayo.

 

  1. Laba ekibuga Yeruzalemu bwe kifuuse amatongo kyonna,

Sso nno y’ennyumba y’ekitiibwa kyo mwe baakutendanga.

 

  1. Ggwe Katonda w’ensi eno tusaasire twonoonye tukirako abagenge

Ffenna anti tugudde ng’obukoola bw’oku muti ogukalidde ddala.

 

  1. Laba ebibi bwe bitusasaanya ng’oyo kibuyaga aakunta ennyo.

Ggwe nno otukwese amaaso go ago otulekeredde.

 

  1. Ggwe eyatutonda amaaso go gaze ku ffe abanakuwadde bwe tuti

Yamba otutumire gw’ogenda okusindika.

 

  1. Omwana w’endiga alifuga ensi musindike ng’omuggya mu

Njazi ez’eddungu: omutwoleke Sioni: atuteme mu kikoligo.

 

  1. Bantu bange; muweere, muweere obulokofu bwammwe bujja mangu (x2)

Mufiira ki ennaku, kuba obulumi bubayinze?

Nnabalokola, muleke kutya mmwe (x2)

Nze Mukama wammwe, nze Katonda wammwe,

Omutukuvu wa Israeli, Omununuzzi wammwe ntuuse.

DOWNLOAD LINK:

GGWE KATONDA W’ENSI PDF

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password