JANGU JANGU JANGU GGWE KRISTU OTULOKOLE

Jangu jangu jangu Ggwe Kristu otulokole

 

Eddoboozi ly’oyo alangirira mu ddungu

Nti mulongoose oluguudo lw’omukama

Mulunngamye amakubo ge.

 

Eddungu n’ensi enkalu byonna bisakanye

Olukalu lujaganye era lutojjere

Lwanye ng’ekimyuula lujaganye

Anti Katonda wammwe wuuyo ajja

 

Mmwe ab’emitima emitiitiizi mwenna kati mugume

Muleme kutya mwenna mulabe

Owokubanya wuuja ajja

 

Eddoboozi ly’oyo alagirira mu ddungu

Mubonerere ebibi byammwe mwenna mwenenye

Olwo buli muntu yenna lw’aliraba Katonda waffe bw’alokola

 

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *