JJANGU JJANGU GGWE KRISTU

Jjangu, jjangu Ggwe Kristu

Omulokozi w’abantu,

Jjangu okutuwonya

Jjangu, jjangu, jjangu.

 

  1. Edda lyonna tusuubira,

Era nga tulindirira

Yamba ssebo tusaasire

Tofa ku bibi byaffe

Yima ku bunaku bwaffe,

Tuggye mu nvuba zaffe

Jjangu, jjangu, jjangu.

 

  1. Yezu, laba bwe twafiirwa

Eggulu nga liggaliddwa

Ffenna ne tuvumirirwa

Abaana be watonda

Sitaani bonna abatwala,

Jjangu, obataase mangu

Jjangu, jjangu, jjangu.

 

  1. Vva mu ggulu ojje ewaffe

Ayi ggwe Katonda waffe

Otuggye mu bibi byaffe

Wewaawo tusaanidde

Omuliro gw’emirembe

Naye era tuddiremu:

Jjangu, jjangu, jjangu.

 

  1. Tunuulira mu nsi zonna,

Ffenna tuli mu magiza,

Tukusaba; otusaasire,

Ggwe ow’ekisa, Kitaffe,

Tukusaba: Ojje mangu

Okutubeera Kristu

Jjangu, jjangu, jjangu.

 

  1. Bw’okkiriza jjangu ewaffe

Ng’otuwonyezza n’olumbe;

Tulikutenda n’essanyu,

Ggwe Kabaka ow’amaanyi

Kulembera, tuwangule

Omulabe sitaani

Jjangu, jjangu, jjangu.

 

  1. Laba: ennaku zitujjudde

Mu mubiri ne mu mwoyo

Jjangu mangu, zikkakkane,

Tukwesiga, ggwe wekka,

Kitaffe, totwabulira;

Ayi, Mukama waffe,

Jjangu, jjangu, jjangu.

DOWNLOAD LINK:

JJANGU JJANGU GGWE KRISTU PDF

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *