Jjangu, Jjangu, Jjangu gwe Kristu otulokole
- Eddoboozi ly’oyo alangirira mu ddungu nti: mulongoose oluguudo lw’Omukama, mulungamye amakubo ge.
- Eddungu n’ensi enkalu byonna bisanyuke, olukoola lujaganye era lutojjere, lwake nga ekimyula, lujaganye anti Katonda waffe wuuyo ajja.
- Mmwe ab’emitima emitiitiizi mwenna kati mugume, muleme kutya, mwenna mulabe, anti Katonda wammwe ow’okubawonya wuuyo ajja.
- Olwo amaaso ga bamuzibe gonna gazibuke, n’amatu ga bakiggala nago gazibuke, olwo omulema alyebuukiza ng’ennangaazi, n’olulimi lwa kasiru luliyimba nga lujaganya.
- Eddoboozi ly’oyo alangirira mu ddungu, mubonerere ebibi byammwe mwenna mwenenye, olwo buli muntu yenna lw’aliraba Katonda waffe bw’alokola.
Loading...