JJANGU YANGUWA

Jjangu yanguwa okujuna,
Jjangu otuddize eddembe Yezu
Tukwesiga ggwe musaasizi

1.    Mutegekere amakubo omukama,
Mmwe munyirize emiima egyammwe,
Mmwe mugolole amayisa agammwe,
Lwe muliraba Omukama ng’ajja.

2.    Omulanzi ye Yoanna alanze,
Mmwe mulunngamye amakubo gammwe,
Ly’eddobbozi ly’oyo alanga,
Nti mutegeke emitima gyammwe.

3.    Ka tunyirize amakubo agaffe,
Tubugirize Omukama nga azze.
Katugolole amakubo agaffe,
Tusanyukire Omukama ng’azze.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *