KATONDA WA MAWANGA

KATONDA WA MAWANGA (M.H)

  1. Katonda w’amawanga

Leka tusaasire!

Otume gwe walanga

Ssebo muyanguye!

Tusinda mu luwonvu

Olw’ennaku n’ekibi

Oyambe n’obugonvu

Ffe abaana abonoonyi.

 

  1. Ennaku zituyinze,

Mpaawo musaasizi;

Sitaani y’atusinze;

Mukama, wonya ensi,

Tulumwa nnyo Kitaffe

Mu buddu bw’omubi

Tema amasamba gaffe,

Jjangu Mulokozi.

 

  1. Laba emmunyeenye eyaka

Egoba enzikiza;

Ye nnyina wa Kabaka

Atutangirira,

Ggwe essuubi ly’abalanzi

Wamu n’ezzadde lyo

Otuddize obuganzi

Obw’omuwere wo!

DOWNLOAD LINK:

KATONDA W’AMAWANGA PDF

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *