MUGAMBE MUWALA WA SION
MUGAMBE MUWALA WA SION (Fr. James Kabuye)
Ekidd: Mmwe mugambe omuwala wa Sioni,
Nti omulokozi we wuuno ajja,
Empeera y’obuganzi emuli mu gwa ddyo
N’ebitiibwa bye bimukulemberamu, mukama
Mugagga, abamutya baliyitibwa batukuvu banunule
Sso ggwe oliyiyibwa kibuga ekyayonoonebwa ne kiddawo.
Kibuga ky’Omukama kyatagenda kwerabira.
- ….
Nnantalemwa afuga amawanga ddala kati, kati azze kabaka w’eggulu
Ensi ye k’ejaguze ddala kati, kati azze omwana w’engoma.
N’ebizinga bisanyuke ddala kati, kati azze kabaka w’eggulu.
- ….
Mu maaso g’ensozi empavu ddala kati, kati azze kabaka w’eggulu
Zonna ezo ziggwerere ddala kati, kati azze omwana w’engoma.
N’ensi eno ekankane ddala kati, kati azze kabaka w’eggulu
- Bamumanyi kati banywevu
Beesimye bajaguze
Nnamula ye atuukirire
- Buyinza bw’Omukama bungi
Ku nsi eno bulangibwe
Tolina ggwe kikulema
- Nnannyinimu muliisa baana
B’olyooye bakumanye
N’obutuufu bubabune
- Nnantalemwa Messiah atuuse
Atuuse tusanyuke
Y’efudde laba omuto
DOWNLOAD LINK:
0 Comments