MULONGOOSE MMWE AMAKUBO

MULONGOOSE MMWE AMAKUBO (Fr. James Kabuye)

Ekidd: Mulongoose amakubo, mulongoose amakubo g’Omukama

                  Wuuno atuuka Kristu ali kumpi. Mubonerere Obwakabaka

                  Bwa Katonda bwe buubwo busembedde, mubonerere,

                  Obwakabaka bwa Katonda, bwe buubwo busembedde

 

  1. Butuuse, obudde butuuse obw’okulokola kwammwe.

Obudde butuuse, muve mu tulo, mudde eri Omukama,

Anti asaasira, anti atwagala: Ye tayagala mwonoonyi n’omu kuzikirira

Mulongoose, mulongoose amakubo ge (x2)

 

  1. Butuuse, obudde butuuse obw’okulokola kwammwe

Obudde butuuse mwenna mwanguwe, mujje eri Omukama,

Anti asaasira, anti atwagala: Ye tayagala mwonoonyi n’omu kuzikirira

Mulongoose, mulongoose amakubo ge (x2)

 

  1. Butuuse, obudde butuuse obw’okulokola kwammwe

Obudde butuuse, Omuyinza atuuse, leero nga tuwonye,

Anti asaasira…………

 

  1. Butuuse, obudde butuuse obw’okulokola kwammwe,

Obudde butuuse muve mu nsobi mmwe, etuuse essaawa,

Anti asaasira, anti atwagala…….

DOWNLOAD LINK:

MULONGOOSE AMAKUBO PDF

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *