MUSANYUKE MU MUKAMA

Musanyuke, musanyuke, musanyuke mu Mukama, nze nziramu okugamba

Mwenna musanyuke, (wuuno ajja anaatulokola wuuno azze muleke kutya

mmwe) x2

Byonna ebibaluma mubirekere Omukama ajja anabitereeza.

  1. Kati ndi mugumu nze sikyatya nze anti Omukama Ddunda ge maanyi

Gange, lye ttendo lyange, Mukama bwe bulokofu bwaffe.

Mukowoole Erinnya lye mutendereze by’akoze mu bantu.

Mugambe nti Erinnya lye eryo lya kitiibwa wonna.

 

  1. Kati ndi mu kuyimba sikyadaaga. Anti Omukama Ddunda ayinza

Byonna, y’anampa byonna, Mukama ye mugagga w’ebintu

Mutendereze Erinnya lye, mukungirize byakoze mu bantu,

Mugambe nti erinnya eryo lya kitiibwa wonna.

 

  1. Laba Obutuufu bwe butujjidde, buubwo obutuufu bwanya mu maaso

Gaffe mu ttwale lyaffe. Mukama ggwe musingi gwaffe,

Mutendereze Erinnya lye, mulaalaase by’akoze mu bantu,

Mugambe nti anaatuwonya emisango gyaffe.

 

  1. Kati abamumanyi mmwe timwekweka mwewe Omukama Ddunda lwe lwazi lwammwe ettendo lyammwe. Mukama ye muwanguzi wammwe

Mukowoole Erinnya lye mulaalaase byakoze mu bantu.

Mugambe nti erinnya eryo lya kutendwa wonna.

 

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *