TUJJUKIRE FFE ABAKRISTU (W.F.)
- Tujjukire ffe abakristu
Katonda lwe yatutonda
Ne mwoyo mutuukirivu
Lwe yatujjirira ffenna.
- Awo naffe twegobeko
Obunafu bw’omubiri;
Tusituke, tunyonyeko
Katonda Omukama gy’ali.
- Tumusabe okuwulira
Ebiwoobe by’abanaku
Taleme kutusaasira
N’atuwa ekifo mu ggulu.
- Ebiro nno bye tulimuy
Kiisi amutendereza,
Amwesiimise mu ggulu
Yeyongere okumutenda.
- Kale nno Kitaffe Patri,
Tukwegayiridde ffenna
Otuwe okukwagalanga
Tuleme kukola bibi.
- Ayi Yezu Omununuzi
Tukwegayiridde leero
Ne Mwoyo Omusaasizi
Mutumalemu ekyejo.
- Leero tukungaane ffenna
Okusaamu ekitiibwa
Katonda Mukama waffe
Emirembe n’emirembe.
DOWNLOAD LINK: