YANGUWA YEZU TUSAANAWO (Mr. Ben Jjuuko)
Ekidd: Ayi Yezu ggwe Omusumba
Endiga zo ffe twabuliddwa,
Laba bwe tubunye emiwabo
Ggwe Omusumba tukweyuna ffe otujune,
Yanguwa Yezu yanguwa, tusaanawo ffe tusaanawo (x2)
- Tubonaabnona ffe tulumwa nnyo,
Tunaddawa Kitaffe otuddiremu,
Tuddukira gy’oli otuddireemu.
Gutusinze ffe twenenyezza,
Twenenyezza – twenenyezza – twenenyezza.
- Eggwanga lyo Kitafe eribonaabona,
Kye tusaba Kitaffe oliddiremu,
Okwegayirira okwo kukutuukeko,
Katonda ow’obuyinza omusaasizi,
Otuddiremu – otuddiremu – otuddiremu.
- Omusumba omulungi onojja ddi,
Abaana bo sitaani anaatumalawo,
Ddunda ow’obuyinza omuzirakisa
Omuzigu sitaani ataamye nnyo,
Anatumalawo – anatumalawo – anatumalawo.
- Entalo za sitaani omuzigu oli
Ddunda ow’obuyinza ozimalewo
Enduulu n’okukaaba ebizivaamu,
Obimalewo Kitaffe omusaasizi
Eddembe liddewo – eddembe liddewo – eddembe liddewo.
DOWNLOAD LINK: