YEZU WAFFE OMUNUNUZI (W.F.)
- Yezu waffe omununuzi
Omutonzi w’ebiriwo
Abakukkiriza mu nsi
Bonna beesiga ekisa kyo.
- Wajjirira kimu kyokka
Kwe kutulokola ffenna,
Mu buddu mwe twakulira
Ne leero totwabulira
- Ekyu’okwenunula ffekka
Ffenna wamu kyatulema:
Ggwe wakisobola wekka
Nga wefudde ng’ekyonzira
- Erinnya lyo erya Yezu
Lya kitiibwa mu nsi yonna
N’emagombe ne mu ggulu
Wonna lifukaamirirwa.
- Ayi Yezu nannyini kisa,
Omulamuzi w’abantu
Tukwegayiridde ffenna
Yamba: Tugende mu ggulu.
- Katonda Mukama waffe,
Trinita Omutuukirivu,
Tukusinza ffenna wamu
Emirembe n’emirembe.
DOWNLOAD LINK: