AGENDA OMULUNGI YEZU

Laba! Laba! Laba! Wuuyo!
Laba agenda Yezu, n’ekitiibwa
Ng’alinnya mu ggulu.
1.    Agenda omulungi Yezu Kristu ow’obuyinza
Atulekawo kati ffe ku nsi
Ye atusiibula ffe
Azzeeyo eri nno gyeyava.

2.    Ng’avaawo atugambye Yezu
Naffe alitutwala, mu ggulu
Ewuwe gyetulibeera ye katonda mwene
Atusuubizza, tusuubire!

3.    Ng’agenda Maria wuuno ye amutulekedde
Asigadde naffe wano ku nsi Bikira omutiibwa,
Abe nnyaffe, tumweyune.

4.    Leero tumukulise nno ssabawanguzi oyo
Emirembe n’emirembe ffenna Yezu ow’ekitiibwa
Ffe gy’otudde tuwangame.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *