EWA PATRI KATONDA

Ewa Patri Katonda, Yezu waffe oddayo,
(naffe emirembe gyonna, gy’oli  tubeereyo)x2
1.    Olwaleero lukedde
Kigambo kya ssanyu
Yezu atukulembedde
Ffe ffenna mu ggulu.

2.    Yava e Yeruzalemu
Wamu n’abatume
N’aliiyu ku losozi
Bonna abasiibule.

3.    Yeesituula n’agenda
N’ammanyi g’alina
N’atumbira mubbanga
Nga takyalabika.

4.    Eggulu lyeggulewo!
Ono ye Kabaka;
Mwenna bamalayika
Mumwanirize nnyo.

5.    Leero mukama waffe
Atudde mu ggulu
Ku gwa ddyo gwa kitaawe
Abugaanye essanyu!

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *