OTUMBIDDE WAGGULU EYO

1.    Ayi Mukama otendebwe Kitaffe(ffe) watutonda
Ggwe agaba obulamu.
Nga wayoleka amaanyi go omuyinza
Ddunda b’oganza bakutende nnyini.
Otumbidde ddala waggulu eyo mu bwa katonda bwo obutaggwawo
Otumbidde ddala waggulu eyo, mujje tumwebaze ye mukama waffe.

2.    Tukuwa ettendo ffenna wamu mu nnyimba
Ffenna (b’olyoye) b’olyoye na bonna eyo gy’oli  (mu ggulu)
Bikuyimba ggwe ebyokunsi ebitonde, anti ggwe ofuga (ggwe ofuga) bye watonda enkumu.

3.    Ndi musanyufu nga sirina kudaaga (ga)
W’oli siijule ggwe omulungi bw’otyo
Lwe nnakuyita mu bizibu kitange,
Wajja n’onnyaqmba kankutende ssebo

4.    Ayi mukama abbana bo abalonde twebaza (ssebo) ssebo
Ggwe atuganza bw’otyo ng’otuganza
Nga wayamba ffe ne tugoba siaani, (tuyitwa baana)
Tuyitwa baana be walyowa ssebo.

5.    Mwoyo mukama mutukirivu omutendwa (ndwa)
Patri ne mwana mwenkanye  ettendo
Ggwe wabituwa
Ebitone byo mu bungi
Wajja n’ewafe otuule ggwe mu ffe.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *