OTUMBIDDE WAGGULU EYO(Fr.James Kabuye)

1. Ayi mukama otendebwe kitaffe(ffe) watutonda

Ggwe agaba obulamu.

Nga wayoleka amaanyi go omuyinza

Ddunda boganza bakutende nnyini.

 

Otumbidde ddala waggulu eyo mu bwa katonda bwo obutaggwawo

Otumbidde ddala waggulu eyo, mujje tumwebaze ye mukama waffe.

 

  1. Tukuwa ettendo ffenna wamu mu nnyimba

Ffenna (b’olyoye) b’olyoye na bonna eyo gy’oli  ( mu ggulu)

Bikuyimba ggwe ebyokunsi ebitonde, anti ggwe ofuga (ggwe ofuga) bye watonda enkumu.

 

  1. Ndi musanyufu nga sirina kudaaga (ga)

W’oli siijule ggwe omulungi bw’otyo

Lwe nnakuyita mu bizibu kitange,

Wajja n’onnyaqmba kankutende ssebo

 

  1. Ayi mukama abbana bo abalonde twebaza (ssebo) ssebo

Ggwe atuganza bw’otyo ng’otuganza

Nga wayamba ffe ne tugoba siaani, (tuyitwa baana)

Tuyitwa baana be walyowa ssebo.

 

  1. Mwoyo mukama mutukirivu omutendwa (ndwa)

Patri ne mwana mwenkanye  ettendo

Ggwe wabituwa

Ebitone byo mu bungi

Wajja n’ewafe otuule ggwe mu ffe.

 

 

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *