Ekidd.: Kuuma ebisuubizo bye wasuubiza
Nga obatizibwa Kristu n’omusenga
Wamalirira toddirira.
- Nnyaffe Eklezia akusaba, nywera okule mu kukkiriza.
Katonda ani oyo gw’onoonya?
Gwe bataakuwa ku luli nga obatizibwa?
- Kristu yatugamba twerinde abalanzi ab’obulimba bali ababuzaabuza;
Bakuwa eddiini ennyangu, werinde mwattu ozaawa
Bakuwa Kristu omwangu, werinde mwattu ozaawa
Bakuwa obugagga obwangu, werinde mwattu ozaawa.
- Eddiini si byewuunyo, ne sitaani naye abikola nnyo
Eddiini si kwesanyusa, ne sitaani naye asanyusa nnyo.
- Empeera y’abalungi ekusuba, obanga tofubye tonywedde
Empeera y’abalwana ekusuba, obanga togumye tonywedde
Empeera y’abalungi ekusuba, okusamira kuleke ozaawa
Empeera y’abalwana ekusuba, eddiini ziizo zibuna.