KRISTU FUGA (Ps.) (Fr. James Kabuye)

Ekidd. Kristu, Kristu fuga, Kristu, Kristu, Kristu lamula.

1.Omukama yagamba Mukama wange nti: tuula ku
Gwa ddyo omukono gwange.

2.Omukama alisinziira mu Sioni n’abunya ddamula w’obuyinza
Bwe obwo Ggwe fuga mu balabe bo wakati.

3.Obukungu bubwo okuviira ddala ku lunaku lwe wasituka
Mu kwakaayakana kw’Abatuukirivu; nnakuzaala ne mmambya
Tannasala kyenkana ng’omusulo.

4.Omukama yalayira era tagenda kwejjusa;
Ggwe oli musaserdooti emirembe gyonna, mu lubu olwa Melkisedeki.

5.Omukama akuli ku ddyo wo Ggwe; bw’alisunguwala
Alivunjaga Bakabaka.

KABAKA W’EGGULU (M.H.)

1. Kabaka ow’eggulu n’ensi zonna,
Mukama Ggwe ow’obuyinza, Ye Ggwe gwe tusenga n’obuzira,
Gwe twerondedde, gwe tusinza. Twayingira dda mu busenze buno
Tubunywereremu, Titujja kuvaamu Tufugenga!
2. Mu nsangi ezaayita mu nsi muno
Nga tibakumanyi n’akamu:
Era ne balemwa amateeka go
N’empisa ez’eddiini ennamu.
Kabaka omutiibwa, tukwebazizza
Ku lw’okutuwonya
Mu kwebonyaabonya,
Mu kufa kwo.

3. Enkande ey’ensi y’obukafiiri
Leero nga ye nnimiro ddala,
Emulisizza ebyobujulizi
Ate ebyobubiikira byanya.
Ayi Kristu Mukama gwe twesingira,
Okuume, obutaka
Bukuume, Kabaka,
Mu ddiini yo!

DOWNLOAD LINK:
KABAKA W’EGGULU

HOSANNA (MATABI) (Fr. James Kabuye)

Ekidd.: Hosanna, Hosanna, Hosanna, bakugulumize
Omukama Katonda w’amagye
Hosanna, Hosanna, Hosanna bakugulumize, Yezu Kristu.

1. Abantu nga tusanyuka, nga tuyimba ku luno, nga tugamba:
Hosanna Mulokozi, Hosanna ajja nu linnya ly’Omukama
Hosanna Omwana, wa Daudi eyalangibwa.

2. Abantu nga tusanyuka, nga tuleeta ebirabo, nga tuyimba:
Hosanna Mulokozi, Hosanna ajja nu linnya ly’Omukama
Hosanna Omwana, wa Daudi tuwulire.

3. Abantu nga tusanyuka nga tunyeenya amatabi nga tuyimba:
Hosanna Mulokozi, Hosanna ajja mu linnya ly’Omukama
Hosanna Omwana, wa Daudi tuwulire.

DOWNLOAD LINK:
HOSSANA

GGWE KABAKA GGWE MUKAMA(Fr. Expedito Magembe)

Ggwe Kabaka Ggwe Mukama atutwala, buli kitonde kyonna kifukaamirira erinnya lyo.
Yezu ………… Kabaka
Kristu ……….. Mukama
Tuli babo Ggwe Kabaka waffe … (laba tuli babo Mukama Ggwe otutwala)

1.Ggwe afuga buli Kitonde kyonna mu ggulu ne mu nsi
Oli wa kitiibwa wonna … osaana otendebwe
Obwakabaka bwo Mukama …. bwa lubeerera
Ebitonde byonna Ggwe obitwala.

2.Obwakabaka bwo Mukama …… bwa mazima n’obulamu
Obubwo obwakabaka …bwa mazima era bwa kwagalana era bwa mirembe.

3.Tuyambe tukolerere emirembe twongere obwakabaka bwo
Tuyambe tukolerere amazima twongere obwakabaka bwo
Tuyambe tukolerere okwagalana tubeere mu bwakabaka bwo.

4.Yezu oli Kabaka nkwaniriza n’omutima gwonna nkwagala
Ggwe maanyi gange, bulamu bwange, ssuubi lyange
Ggwe ampanirira – Mukama wange nkwagala.

DOWNLOAD LINK:
GGWE KABAKA GGWE MUKAMA

GGWE KABAKA (W.F.)

Ekidd.: Ggwe Kabaka Omutonzi w’abantu,
Ggwe Kabaka w’ensi zonna ddala!
Ggwe Kabaka! Anti tolemwa kantu,
Ggwe Kabaka ! Wonna Ggwe otufuga!
Ggwe Kabaka! Ggwe Kabaka! Ggwe Kabaka.

1. Yezu Omutiibwa Ggwe Kabaka waffe,
Ka tukusinze kuba watutonda,
Tulikutenda kuba Ggwe walonda,
Okuba naffe, okuba naffe.

2. Yezu Omuyinza, Ggwe Kabaka waffe,
Twali mu buddu, sitaani omujeemu
Nga y’atutwala n’ojja n’otuzzaamu
Eddembe lyaffe, eddembe lyaffe.

3. Yezu Omulungi Ggwe Kabaka waffe,
Byonna by’osiima tujja kubituusa
Bamanye bonna nga bwe tutakuusa
Mu mpisa zaffe, mu mpisa zaffe.

4. Yezu Omuteefu, Ggwe Kabaka waffe,
Tukwesigenga, mbeera watugamba,
Mu ntalo z’ensi bulijjo okuyamba
Emyoyo gyaffe, emyoyo gyaffe.

5. Ggwe Yezu waffe, beera empeera yaffe,
Oba twegomba nno okubeera naawe,
Ka ebibi byaffe byonna tubikyawe
Katonda waffe, Katonda waffe.

DOWNLOAD LINK:
GGWE KABAKA

ATENDEREZEBWE OMUKAMA(Fr. Gerald Mukwaya)

Ekidd.: Atenderezebwe Omukama, atenderezebwe Omukama Katonda w’amagye
Atenderezebwe Omukama, agulumizibwe Omutonzi w’eggulu n’ensi.

1. Mu Kiggwa kye Ekitukuvu Tumutende
Mu ddoboozi ery’entongooli Tumutende
Mu nngoma ezo ne mu nnyimba Tumutende
Mu ngoye envuzi n’amadinda . Tumutende

2. Ku makya bwe tugolokoka Tumutende
Mu mirimu egya buli ngeri Tumutende
Mu nngendo eza buli ngeri Tumutende
Ekiro bwe twebaka otulo. Tumutende

3. Mu Kitambiro Ekitukuvu Tumutende
Mu ssaala eza buli ngeri Tumutende
Mu ssanyu nga tusagambiza Tumutende
Mu nnaku bwe tunakuwala. Tumutende

4. Bassabamalayika eyo mu ggulu Bamutende
Bamalayika eyo mu ggulu Bamutende
Abatuukirivu aba buli ngeri Bamutende
Bannamukisa Abajulizi. Bamutende

5. Ebinyonyi eby’omu bbanga Bimutende
Ebyewalula n’ebiwuka Bimutende
Ebisolo eby’eyo mu nsiko Bimutende
Ebyennyanja n’ennyanja. Bimutende

6. Ebinene ebyaka waggulu Bimutende
Amasozi n’emitendera Bimutende
Ebimuli ebya buli ngeri Bimutende
Ebitonde byonna eby’ensi. Bimutende

`7. Ffe nga tukyali ku nsi kuno Tumutende
Ne bwe tuligenda mu ggulu Tumutende
Emirembe gyonna mu ggulu Tumutende
Twesiime naye lubeerera. Tumutende

DOWNLOAD LINK:
ATENDEREZEBWE OMUKAMA KATONDA

KRISTU LYE SSUUBI LYANGE(Fr. James Kabuye)

Ekidd. Kristu; Kristu; Kristu; lye ssuubi lyange eritagooka,
Kristu, Kristu gwe musingi kwe nnyweredde,
Nnazimbibwa ku ye tanjabulira,
Y’ampanguza abalabe abannumba
Kristu, Kristu, Kristu lye ssuubi lyange,
Kristu, Kristu lye ssuubi lyange ery’olubeerera.

1.Mu bizibu by’ensi mugumanga, ndi nammwe emirembe gyonna,
Nze Katonda wammwe atabasuula, atabakiiya,
Musabe muliweebwa kyonna kye munaasaba nga mukkiriza
Mulikifuna, ku luuyi lwange … Byonna bisoboka
ku luuyi lwange … Byonna bisoboka.

2.Obugagga bw’ensi butulimba, buli awo tebusimba bwonna,
Mwesige mmwe byokka ebitafuuka eby’omuwendo.
Musabe muliweebwa ….

3.Emikwano gy’ensi gitulimba, giri awo gya kuleka gyonna
Mwesige mmwe yekka atabasuula, atabakiiya, Musabe muliweebwa …

4.Ebirungi by’ensi bitulimba, tobyewa bya kuleka byonna
Weesigenga yekka ow’obuyinza n’obutuufu.
Musabe muliweebwa …

DOWNLOAD LINK:
Kristu lyessuubi lyange

AMAWANGA GONNA (W.F.)

Ekidd.: Amawanga gonna gakunngaanye,
Okusinza Yezu Kabaka;
Obuganda nabwo bumulonze
Abeeremu ddala Mukama.

1. Emirembe nga teginnasooka,
Mwana wa Patri Nnyini-ggulu
Yaliwo Kabaka, ye Katonda,
Omuyinza wa buli kantu.

2. Eggulu n’ensi ye yabitonda,
Byonna bikwata amateeka ge,
Mu bantu, abamu bakyagaana:
Yezu ow’ekisa abawangule.

3. Ku Musaalaba, ku Kalvario,
Yezu yatufiirira ffenna;
N’afuuka bw’atyo nnanyini myoyo,
Olw’okuginunula gyonna.

DOWNLOAD LINK:
AMAWANGA GONNA

KRISTU SSABAVUBUKA (Fr. James Kabuye)

Ekidd. Kristu Yezu, Ssabavubuka w’ensi yonna,
Tukwanirizza, tukukkiriza Kristu omuwanguzi,
Ggwe ttawaaza yaffe mu nsi muno,
Ggwe lugero lw’abavubuka bonna.
Wangula, wangula, wangula
Kristu wangula x2 Kristu Luwangula.

1. “Ono ye mwana wange omwagalwa ennyo mumuwulirenga,
Ono musiige wange omwetowaze omuwulize
Batonde bonna mmwe mukimanye.

2. “Ono ye Mwana wange abaagala ennyo Omulokozi azze,
Ono Messiya y’ono n’obulamu abuwaddeyo,
Batonde mwenna mmwe mumumanye.

3. Wavubukanga mu myaka gyo, ng’ojjude amagezi,
N’enneema ya Katonda ng’ekuliko.
Ng’osanyusa Katonda n’abantu.
Yamba abavubuka, bakufaanane mu mayisa,
Bavubuke mu kukkiriza.

4. Wavubukanga mu budde bwo ng’ojjudde obulamu,
Ne mwoyo wa Katonda ng’akuliko.
Yamba abavubuka bakufaanane mu magezi
Bakakate mu kukkiriza.

DOWNLOAD LINK:
KRISTU SSABAVUBUKA

YEZU KRISTU, WANGULA (M.H.)

Ekidd.: Kristu, fuga eggwanga lyaffe,
Wangaala Kabaka waffe
Kristu, fuga eggwanga lyaffe,
Wangaala Kabaka waffe.

1 Yezu Kristu wangula Amawanga n’ebika, Tweweeyo n’obwesige Ggwe wekka tulamule!

2. Ayi Kabaka ow’ekisa, Tukusingira amaka; Era ebyaffe bye bibyo, Mpaawo kisigalawo.

3. Era obwakabaka bwo,
Bubunenga bulijjo,
Mu nsi yaffe ne wonna
Awasangwa abazira.

4. Ka tukwate ebendera
Eya Kabaka omwagalwa;
Tugiwanguze ffenna,
Kristu atukulembera.

DOWNLOAD LINK:
YEZU KABAKA WANGULA