Chorus:
Nze ani akowoola? Nze ani akyaliddwa? Nze ani asembezebwa leero kumbaga y’Omukama?
Verses:
- Katwambuke abayite b’Omukama entanda etuuse, musagambize b’ayise kati mwena abeetegese.
- Ekitiibwa kye nfunye kati atekirina ani? Okukyaza omutonzi w’eggulu erandi mu ggulu!
- Alinjagalanga bw’onjagala leero asangwa wa? Ggwe wa waayo n’obulamu bwo lwa kunjagala nnyo.
- Alinzigya ku ggwe Mukama leero kiriba ki? Obakufa ndikufiirira ngende gy’obeera.
- Ayi Maria mmange omwagalwa leero ngambentya? Nze okukyaaza omwana wo ddala gwe wazaala n’oyonsa.
- Nze kyensaba ayi Mukama Ggwe azze olwa leero, ng’obw’okufa bugobye buti ntwala gy’obeera