Yezu, Maria, Yozefu, Amakagamwe mugakuumenga.
- Mugakuumenga, mukwagalana, tuyambagane buli lunaku;
Tubeere ffembi, n’omwoyo gumu, n’emeeme emu okutuusa okufa.
- Mugakuumenga mubutukuvu, ennyumba zaffe zibeere nnungi;
Tuyinzeemu, byonna eby’ensonyi n’abantu ababi n’abagwenyufu.
- Mugakuumenga mu buwulize, bassemaka bo babe n’ekisa;
Nga balagira bakyala baabwe, bateese kimu okufugabaana.
- Mugakuumenga ne mu buzadde, tusobolenga Omulimo gwaffe;
Ogw’okukuza abwaana bwonna, netubufuunira bukristu ddala.
- Mugakuumenga mu ssanyu lyaffe, Katonda waffe nga tumwebaza;
Mugakuumenga mu nnaku zaffe ffena tuleme okuterebuka.
- Mugakuumenga ne mu bukadde; ne mu kaseera ak’okufa kwaffe;
Yezu, Maria, naawe Yozefu, timutuvaako, tujje mu ggulu.