MU GGULU DDALA MARIA (Ben Jjuuko

Ekidd.: Mu ggulu, mu ggulu, mu ggulu ddala Maria
Ggwe oli mu ggulu. x2
Nnyaffe oli mu ggulu Nnamasole oli mu ggulu
Nnyaffe oli mu ggulu n’omubiri gwo oli mu ggulu.

1. Mukyala omulondemu, muzadde omulondemu
Mukyala atemagana, omuzadde amasamasa,
Mmambya etemagana, omuzadde amasamasa,
Naffe ffe abaana bo, Ggwe Nnyaffe omuzirakisa.

2. Ddunda Nnamugereka ye yakulondamu,
N’oba omuzaana we eyazaala Omwana we,
Mukyala oli magero, omulungi ddala ddala,
Ddunda Nnamugereka yakuwunda ddala ddala.
3. Ggwe wazaala Omwana wo, Omulokozi ddala ddala,
Ye Mwana ddala ddala owa Kitaffe nnamaddala,
Wa luganda nnamaddala ggwe muzadde ddala ddala,
Twesiimye ffe abaana bo ggwe Nnyaffe ddala ddala.

4. Nnabakyala omuzirakisa, ng’obudde buweddeyo,
Obwaffe okusomoka tujje eyo eri Lugaba,
Beera omwanjuzi ggwe Nnyaffe eri Lugaba.
Twesiime mu lubiri lwe ng’abaana abawanguzi.

DOWNLOAD LINK:

MU GGULU DDALA MARIA

NNYABO OMULUNGI ENNYO (M.H.)

1. Nnyabo omulungi ennyo,
Ggw’oli kiddukiro,
Eky’abasenze bo!
Nkweyanzizza!
Oli musanyufu, oli mukkakkamu,
Oli mutukuvu ng’omuzira!

Ekidd.: Ayi nno ggwe Nnyabo, beeranga ngabo;
Tondeka ttayo nga ndi mu kabi,
Ntaasa sitaani n’amaddu g’ensi!
2. Mmange omugagga ennyo,
Yezu ye Mwana wo,
Ssanyu n’essuubi lyo
Nkwejagidde!
Ye yakutukuza, Ye yakubiibiita,
Ye yakuwanngamya, kulika ggwe!

3. Nnyabo ndi mwana wo,
Ndi mu mikono gyo,
Leero ne bulijjo
Mpolereza!
Ndiisa n’enneema yo, nzijuza eggezi lyo,
Nnyamba n’amaanyi go, mpambaatira!

4. Nnyabo omusaasizi,
Ssuubi ly’aboonoonyi
Nnyina Omulokozi,
Nkwesize ennyo!
Rooza ey’okwagala, Ddanga ery’okwekuuma,
Ddembe lye nneegomba, nkwesize nnyo!

DOWNLOAD LINK:

.NNYABO OMULUNGI ENNYO

NNYAFFE OW’AFRICA (Fr. James Kabuye)

1. Ye Ggwe Maria, omuzadde amakula,
Asinga Ggwe abazadde bonna;
Kuba Messiya, mu nda yo mwe yava.
Wazaala Yezu otendwa Maria.

Ekidd.: Abafrica ffenna tukwewa,
Tuyambenga Ggwe Nnyaffe ow’Africa.

2. Ye Ggwe Maria eyayamba Abatume,
Luli Yezu ng’avudde ku nsi
Ye Ggwe eyasaba, Mwoyo ajje agumye,
Bonna Kristu oyo, be yajja okuyita.

3. Luli abakulu lwe bajja gye tuli
Wala nnyo eno mu nsi Africa.
Ne bagikuwa, ensi eno na byonna,
Ffenna Ggwe Nnyaffe tuyambe Maria.
4. Ensi etabuse tuyambe tuwonye,
Ffenna abaana jangu otubbule,
Laba omulabe ajja atusaanyeewo
Tuyambe Nnyaffe, tutaase abalabe.

5. Leero Maria Uganda ekuyita,
Juna nyweza eddiini wonna,
Bonna abakulu, gwe beesiga ye Ggwe.
Bakuume Nnyaffe, bataase Maria.

6. Laba abanaku, bayambe Maria,
Ggyawo endwadde wonna mu Africa,
Juna abanaku, bawe akokulya
Babeere kumpi, bayambe Maria.

7. Laba Maria, abaana abanaku,
Jangu Ggwe nnyaabwe bawambaatire,
Bawe okuyiga nti: Yezu ye yekka,
Afuula abaana, abalungi amayisa.

DOWNLOAD LINK:

NNYAFFE OWA AFRICA

NNYAFFE YAMBA (Fr. Expedito Magembe)

Ekidd.: Ggwe Nnyaffe Omuyinza – Ggwe Nnyaffe, Nnyaffe ow’ekisa,
Ggwe Nnyaffe Omuyinza – Maria tuyambenga.

1. Bikira Maria Ggwe Nnyaffe omwagalwa
Kuuma yamba ffe abaana bo.
Bikira Maria Ggwe Nnyaffe omwagalwa
Tuutuno tuyambe tuli baana bo.

2. Bikira Maria Ggwe Nnyaffe omwagalwa
Kuuma Uganda etebenkere.
Bikira Maria Ggwe Nnyaffe omwagalwa
Tusabire ensi eno etebenkere.

3. Bikira Maria nga bangi abavuma
Baagala eddiini mbu bagizise.
Nnyaffe twagaze Kristu Omulokozi
Taasa eddiini etinte.

4. Bikira Maria Nnyaffe tusaba kino
Tutaase endwadde etumalawo.
Tusaba tuyambe Nnyaffe Ggwe ow’ekisa
Tusabire tuyambe tuggwaawo.

5. Bikira Maria Nnyaffe tukudaagira
Twagaze Omukama tubeere babe.
Obulamu nga bukomye obw’eno obw’ekiseera
Tuwungule otutuuse mu bw’olubeerera.

DOWNLOAD LINK:

GGWE NNYAFFE

OGENZE N’EKITIIBWA (W.F.)

Ekidd.: Ogenze n’ekitiibwa
Okwesiima Nnyaffe Maria;
Ogenze n’ekitiibwa,
Ofuga Bamalayika.

1. Nnyina Yezu Kristu,
Maria osinze,
Nnyina Yezu Kristu,
Osinze olumbe.
Yezu Ggwe omugoberedde
Weesiimye leero naye.

2. Ebitonde byonna,
Nnyina wa Katonda.
Ebitonde byonna
Bikuweerezenga.
Naffe nno tuwolereze,
Eri Katonda waffe.

5. Edda tuligenda,
Naffe okukutenda
Edda tuligenda
Gy’oli Ggwe mu ggulu.
Otusabire eri Yezu
Tutuukeyo n’essanyu.

DOWNLOAD LINK:

OGENZE N’EKITIIBWA

OLWALEERO BIKIRA MARIA (W.F.)

Ekidd.: Olwaleero Bikira Maria, omwoyo gwange guuguno;
Olwaleero Bikira Maria, omwoyo gwange guuguno,
Omwoyo gwange guuguno, omwoyo gwange guuguno.

1. Maria goba amasitaani, gatutwala mu bibi.

2. Jjukira: titulina maanyi, sabiranga aboonoonyi.

3. Tuyambe otuwonye ekyejo, tulongooke mu mwoyo.

4. Saasira Baganda bannaffe, obaggyanga mu lumbe.

5. Twagaze Omwana wo Yezu, atutwale mu ggulu.

DOWNLOAD LINK:
OLWALEEROBIKIRA MARIA

TUKULAMUSIZZA (W.F.)

1. Tukulamusizza,
Nnyaffe ow’ekisa;
Tukuvunnamidde,
Tukwewombekedde.

2. Abaana abawere
Tubakukwasizza;
Obawambatire
Obaleze ekisa.
5. Abazadde baffe,
Tobeerabiranga;
Batukuumirenga,
Mu bukadde bwabwe.

6. Abanakuwadde
Wamu n’abalwadde:
Obajjukiranga
N’obakubagiza.

DOWNLOAD LINK:

TUKULAMUSIZZA

TUKUYIMBIRA GGWE NNYAFFE(Fr. James Kabuye)

A. Tukuyimbira Ggwe Nnyaffe omuganzi,
Tukukulisa Ggwe eyazaala Katonda,
Tulikwekola ffe abaana otuyamba,
Toyabulira akwewa omukuuma,
Abawakanyi baggyeeyo ng’obagonza,
N’abaseerera ku ddiini bayambe,
Ng’obamatiza amazima, tobegaana ababuundabuunda,
Ensi Uganda laba ebonyeebonye nnyo,
Tunuulira entalo, endwadde n’obwavu
Bwe bibiindabiinda, tunadda wa Nnyaffe,
Obuzibu bweyongedde.

B. Mujje gye ndi ababonaabona…. ffe twesiga Lugaba,
Mujje gye ndi mbakubagize…… tutuuse ewa Nnyinimu.

b) Ku nsi bingi ebibonyaabonya….
Mujje gye ndi mbakubagize;

c) Mujje gye ndi mbaagala kufa….
Mujje gye ndi mbakubagize;

d) Mujje abakulu n’abavubuka….
Mujje gye ndi mbakubagize;

e) Mujje gye ndi n’abavubuka….
Mujje gye ndi mbakubagize;

f) Mujje gye ndi be njigiriza….
Mujje gye ndi mbakubagize.
C. Ddala kituufu tebawuliranga,
Tewali mu Uganda yaddukira gy’oli,
N’omugoba nga tomukkirizza.
Abakwesiga obayamba, obakuuma, obasiima, obawanguza
Mu byetaago, bali wagumu muzadde w’oli,
Abamenyese emitima obaagala,
Abakusaba amagezi obaagala, abalwadde n’abaavu obaagala,
Mu bizibu byaffe w’oli, w’oli Nnyaffe otuwanguza.

DOWNLOAD LINK:

TUKUYIMBIRA GGWE

MIREMBE EMBEERERA (M.H.)

1. Mirembe embeerera!
Ggwe oli nga eddanga eryanya
Ery’obubiikira;
Katonda tiyaganya
Mu Ggwe kibi kyonna.
Embeerera, Ggwe twesiga
Tusabire kaakano,
Naddala nga tufa.

2. Ayi Ggwe, Nnamasole,
Katonda yakulonda,
Ofuuke Nnyina we:
Ayi Nnyina we:
Tukugulumize.
Nnamasole, tukwewadde,
Tusabire kaakano,
Naddala nga tufa.

DOWNLOAD LINK:

MIREMBE EMBEERERA