Mar pa Rwot by Fr. Thaddhaeus Opio

 

  1. Mar pa Rwot (Rubanga) omiyo botwa Locaden Remo we waub lanen meggi.

Chorus

Daudi ki jildo tar pa Rubanga Locaden Remo ada.

Daudi Okelo ki jildo Irwa tar pa Rubanga locaden Remo ada

  1. Cwinywa yom I kom Rwotwa pi cwalo botwa Locaden Remo wek walub lanen meggi.
  2. Pwoc madit, wamiyo bot Rwot pi Locadem Remo, ma onyutiwa yo me polo.
  3. Woro ki pal obed bor Won ki Tipu Maleng, pi naka naka Amen.
Loader Loading...
EAD Logo Taking too long?

Reload Reload document
| Open Open in new tab

Download [35.18 KB]

YUDA TADDEWO OMWAGALWA By Lawrence Semanda.

Yuda Taddewo omwagalwa, mukubagiza w’emyoyo gyaffe. Tukwekola tukwekutte, tuwolereze ewa Kitaffe.

  1. Omutukuvu wo Taata wuuno wamuwa Mukama byonna.

Yabonaabona nnyo yuda Taddewo natakwegaana Mukama.

 

  1. Weegombanga nnyo okusanyusa Oyo ddunda Taata mu byonna

Tufunire naffe okwagala okwo, okwayakana mu ggwe.

 

  1. Yuda taddewo ow’ekisa omununuzi ow’abanaku

 

  1. Ggwe Katobda gwe y’atonda n’akukwasa okukkirizakwaffe.

Tufunire enneema ey’enjawulo, tunyweeremu kukkiriza.

Loader Loading...
EAD Logo Taking too long?

Reload Reload document
| Open Open in new tab

Download [25.88 KB]

ABAFEERA DIINI

Tubasiime twena, Imwe bakundwa mwena,
Amamanzi g’Omuhangi g’obuganzi;
Muri Bwera mbwenu, Nimumureeba Yezu,
Mukajwekwa n’ebirunga by’obumanzi.

1.    Abafeera diini, Mukenda mwena kwera:
Mpaho mwagifeera Mutaine na butiini.

2.    Abacwa-rubanja Bakaija baabacwera,
Kandi baabateera, Bataine bwamushinja.

3.    Emigango yoona Bakenda ku ebasaasa:
Haza mwabibaasa Eby’okugangwa kwona.

4.    Abaronda-biitsi Bakaija n’ebibootsya,
Mwabikunda mwasya, Abandi mwaitwa bwitsi.

5.    Ebisyo bihango Emanzi mwabiteerwa,
Mwafa n’obuhiirwa, Abaisti baine rwango.

6.    Mukama wa byona Emanzi yaabatoora,
Mwagitwarwa Bwera, Niyo mutuura mwena

MUKULIKE NNYO MWASOMA

Mukulike nnyo mwasoma mmwe abeewayo sso okuttibwa,
Muli ne Yezu mwesiimye, mu kwesiima kwonna,
Mutikkiddwa mwenna engule, za baluwangula*2
1.    Mukulike okusoma, eddiini mwaginyweza,
Mwagisoma n’ekiro temwebaka tulo,
Mwasoma nnyo eddiini, mwagimanya bw’eri,
Ddunda tumwebaza, yabajjuza amaanyi.

2.    Mukulike abazira, mmwe abaagoba olutalo,
Mwanywerera ku Yezu gwe mwasenga mwenna,
Mwewaayo nnyo kw’olwo, olw’okuba eddiini
Temwatya kuttibwa, tubeewuunya naffe.

3.    Mwalina okukkiriza, okunywevu ng’ejjinja,
Mwanywerera ku ddiini, gye mwasoma mwenna,
Zaabanyiga ennaku, ne muguma nammwe
Temwatya kuttibwa, nga mujjudde essanyu.

4.    Mujjukire banaffe, baganda bammwe bonna,
Abakyali ku nsi eno ekyamya bangi leero
Nga musabye Ddunda, alituwa enneema.
Ey’okuba ffenna, mu kwesima nammwe.

KALOLI LWANGA

Kaloli Lwanga wuno omulwanyi ow’amanyi,
Tumulina omugabe era omujasi weggye!
Katonda yebazibwe olw’onogu’atuwadde,
Akulembere eggye lye ery’abalwanyi ku nsi,
Atweyagaza omumegganyi Tumusimye
Ow’ettutumu omuganzi Lwanga.

1.    Abatudde mwenna, Omulwanyi Lwanga
Mbanjulira mukulu waffe, Omujasi wa Yezu
Omuzira namigeye oyo, Omulwanyi Lwanga
Mukama gw’atusindikidde, Omujasi wa Yezu
Akulire entabalo zaffe, Omulwanyi Lwanga
Nalukalala atameggebwango, Omujasi wa Yezu
Yewuyo Kaloli Lwanga, Omulwanyi Lwanga
Yewuyo bwetwatabala, Omujasi wa Yezu

2.    Balubale bakangawadde, Omulwanyi Lwanga
N’emmandwa zikambuwadde, Omujasi wa Yezu
N’abafuzi batweweredde, Omulwanyi Lwanga
Batulango obusami bwaffe; Omujasi wa Yezu
Sitye nze Kaloli Lwanga, Omulwanyi Lwanga
Nnanywera Kaloli we ali; Omujasi wa Yezu.

ABAJULIZI AB’ETTENDO

Abajulizi ab’ettendo, banaffe abazira mu Africa wakati
Mga mwesiimye abeewaayo olw’eddiini
Nga muli ne Yezu mutusabire
Tukwatw naffe eddiini n’obuzira ng’obwammwe obw’ettendo.
1.    Mukulike abazira, mukulike omuliro obuzira obwammwe bwa ttendo
Mwanywera nga babatisa, gwe mwasenga katonda omu
Temwamuleka tubakulisa okuwangula, Yezu mwamusanyusa n’ekelezia yonna ebakulisa.

2.    Mukulike abazira, mukulike ebizibu, okusibwa n’enga byantiisa,
Gwe mwasenga nga babanoonya, temwegaana katonda omu nnyini bulamu.
Tubakulisa okuwangula, Yezu mwamusanyusa, n’ekelezia yonna ebakulisa

3.    Katonda yeebazibwe, katonda ng’akuuma abatene nga mmwe ng’anyweza
Twewuunya okwagala okwa, okwasukka ne mwewayo ne babazisa.
Tubakulisa okuwangula, Yezu mwamusanyusa, n’ekelezia yonna ebakulisa

4.    Tuwondera abazira, katuwere abasoma, okusoma eddiini entuufu
Twegaane egya sitaani, tumwekwate katonda ono nnantalemwa
Tulina kati okunyiikira  kati okunyiikira Yezu ffe beyesiga ffe kekezia eva mu bajulizi.

MMWE AB’EKITIIBWA

Mmwe ab’ekitiibwa,
Mubugaanye essanyu mwesiimye,
Tubawanjagidde,
Mutuyambe mu kwerokola.
1.    Ayi mukama! Abajulizi,
Be tutenda mu nnyimba zaffe
Baakukiza obulamu bwabwe
Baalabira ku mununuzi!

2.    Ggwe wabawa okuwangula
Abambowa abakanga ddala
N’obazibira nga balwana
Olutalo oluvannyuma

3.    Abazira abatufiirira
Tubatenda okukkiriza
Tubatenda n’okusuubira
Era tubatenda okwagala.
4.    Yezu Kristu, kabaka waabwe,
Ku kufa kwe baalabira,
Ne baguma mu nnaku zaabwe,
Nga basabira n’abambowa.

5.    Baasalirwa ogw’okuttibwa
Ku lw’eddiini gye baakwatanga;
Baafumitwa ne bakubibwa
Mu muliro ne babengeya

6.    Abazira, mwakalanguka
Nga timutya, nga timwekanga
Ne mulaga abantu bonna
Yezu wammwe bwe mumwagala.

7.    Baganda baffe Abajulizi
Tunyiikire okubeyuna
Be baganzi b’Omulokozi
Tubasabenga okutujuna.

ABAJULIZI BA UGANDA

1.    Leero tujaguze ffenna
Olw’essanyu olw’ekitiibwa!
Nga tulowooza bannaffe
Abazira nga bwe beesiiimye
Ba Uganda abajulizi
Basaale baffe mu ddiini.
Abajulizi ba Uganda
Beesiimye nnyo mu kitiibwa
Batikkiddwa engule za ba Luwangula
Batukulembedde ffenna,
Ka tubagobererenga;
Naffe nno tuwere nti Yezu! Maria,
Naffe nno tuwere nti Yezu! Maria.
2.    Mukulike mmwe abaira,
Mmwe abagoba entalo ez’amaanyi
Nga musoma olw’empaka
N’okukwata empisa z’eddini.
Mwanywerera ddala mmwenna
Ku katonda gwe mwasenga.

3.    Mwalinga mukayali baana
Mu lubiri nga mmwe baganzi
Era nga mukyawoomerwa
Obulamu n’okulya obwami
Ebyo byonna mwabigaya
Ne musiima okutiibwa.

4.    Mu kkomera mu ttambiro
Mu bulumi obutagambwa!
Obuzira bwa kitalo!
Nga timuta kwegayirira,
Ne musabira Uganda
Yonna esenge katonda.

5.    Tufunye mu ggulu leero,
Abatuwolereza bangi,
Be tunaalabirangako
Tulyoke tusinge sitaani
Okutuusa lwe tulifa,
Ne tugenda ewa katonda.