Bass:Obufumbo Obufumbo
Obufumbo bwa Kitiibwax3
Obufumbo Obufumbo Obufumbo
yalubeerera
Soprano/Alto:Bugatta babiri abagalana
bubayunga wamu nebaba omu,
Babeera babiri bafuuka omu Endagaano eno yalubeerera.
Babeera babiri mubufumbo: Endagaano eno yalubeerera.
Babeera babiri mubufumbo: Endagaano eno yalubeerera
Bafuuka bagole ba Katonda
Bafuuka’basika ba Katonda
Bayamba Omutonzi mu Kutonda N’Eklezia Nnyaffe atugamba:Endagaano eno yalubeerera
Nti omusingi gw’Eklezia bufumbo
Okugumikiriza ebyo ebizibu
Okussa ekimu mubufumbo
Obwetowaze bwe bubugumya
Bass: Obufumbo buba bwababiri abeyaamu n’ebalagaana
Yee obufumbo Sakaramentu kaboneroka kwagalana
Bass: Musse kimu nga mwagalana nga Kristu n’Ekelezia
Ebizibu bye munasanga mubigumirennyo munsi muno.
Abaana bemunazaala mubasomese nnyo eddiini
Okwagala kubakwetowaza kulekeragana, kugumiikiriza
Obufumbo bujja kunywera nga mwegayirirannyo bulikadde.
Alibawa empeera (Alibawa) Ddunda alibawa empeera (Alibawa)
Alibawa empeera endagaano yammwe ng’enywedde
Gwe mwasenga nga mumwekutte.
Ng’obutuukirivu mmwe bwebubawembejja