KRISTU FUGA (Ps.) (Fr. James Kabuye)

Ekidd. Kristu, Kristu fuga, Kristu, Kristu, Kristu lamula.

1.Omukama yagamba Mukama wange nti: tuula ku
Gwa ddyo omukono gwange.

2.Omukama alisinziira mu Sioni n’abunya ddamula w’obuyinza
Bwe obwo Ggwe fuga mu balabe bo wakati.

3.Obukungu bubwo okuviira ddala ku lunaku lwe wasituka
Mu kwakaayakana kw’Abatuukirivu; nnakuzaala ne mmambya
Tannasala kyenkana ng’omusulo.

4.Omukama yalayira era tagenda kwejjusa;
Ggwe oli musaserdooti emirembe gyonna, mu lubu olwa Melkisedeki.

5.Omukama akuli ku ddyo wo Ggwe; bw’alisunguwala
Alivunjaga Bakabaka.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *