Ekidd.: Tugendere wamu
Tuweereze Yezu
Ggwe oli Musaale waffe,
Kabaka w’eggulu.
1. Yezu Kabaka waffe,
Mu Ggwe mwe twesiga;
Ggwe oli bugumu bwaffe,
Ggwe oleeta obuzira.
2. Ebendera yeewuuba, Ey’Obutukuvu; Essanyu terisuba
Abeewadde Yezu.
3. Enngoma tuziraya,
Tugenda ku bulwa;
Olumbe tulugaya:
Yezu, tugumyenga!
4. Sitaani tumugobe
Amaddu tugatte,
Ensi, kuba ekiwoobe
Kuba tukwesambye.
DOWNLOAD LINK:
YEZU KABAKA WAFFE