YEZU KATONDA GWE TUSINZA (W.F.)
Ekidd.: Yezu Katonda gwe tusinza,
Ggwe otufuga, tukwagala:
Ggwe Kabaka ow’obuyinza,
Byonna byonna Ggwe obitwala.
1. Tukwatula Kabaka Yezu,
Wonna wafuna obuyinza:
Patri ye yalagira abantu
Bonna bakuwulirenga.
2. Mu kisa kyo, Kabaka Yezu
Watuwonya; twali baddu.
Masitaani nga ge tusinza,
Amaddu nga gatutwala.
3. Obuganda, leero ttwale lyo;
Ku Myanga lwe yalinyweza,
Abasaale Abajulizi bo
Bwe baafa kye baategeeza.
DOWNLOAD LINK:
YEZU KATONDA GWE TUSINZA
0 Comments