YEZU KRISTU, WANGULA (M.H.)
Ekidd.: Kristu, fuga eggwanga lyaffe,
Wangaala Kabaka waffe
Kristu, fuga eggwanga lyaffe,
Wangaala Kabaka waffe.
1 Yezu Kristu wangula Amawanga n’ebika, Tweweeyo n’obwesige Ggwe wekka tulamule!
2. Ayi Kabaka ow’ekisa, Tukusingira amaka; Era ebyaffe bye bibyo, Mpaawo kisigalawo.
3. Era obwakabaka bwo,
Bubunenga bulijjo,
Mu nsi yaffe ne wonna
Awasangwa abazira.
4. Ka tukwate ebendera
Eya Kabaka omwagalwa;
Tugiwanguze ffenna,
Kristu atukulembera.
DOWNLOAD LINK:
YEZU KABAKA WANGULA
0 Comments