YEZU LAGIRA FUGA

Yezu lagira fuga; Ffena tuli babo;
Gaziya ate enngoma yo Otwale ensi yonna.
1.    Nandibadde ng’abantu bangi, bakugaana nga Katonda.
Ffe nno ayi Yezu Mulokozi, Tukwatula nga Kabaka.
2.    Wazaalibwa mu nsi ng’omuntu, ekitiibwa n’okikisa;
Sso emirembe gyonna mu ggulu, watuulanga nga Kabaka
3.    Eyakuzaala mu nsi yattu, ye Maria Nnamukisa;
Nga bombi ne bbaawe Yozefu, Ba mu lulyo lwa Kabaka.
4.    Ne mu mpuku ey’e Betelemu, Yezu waffe ow’ekitiibwa;
Olabika ng’oli mu bwavu, sso tukusinza Kabaka.
5.    Abantu ab’eggwanga lyo bonna, mu kibuga ku Matabi
Baakowoola n’essanyu lingi, “Hosanna! Yezu Kabaka”
6.    Abalabe bo bakwegaana, bakutwala ewa Pilato;
Sso naye ku musaalaba gwo, yawandiika nti, “Kabaka”
7.    Mu Missa ate ne mu Komunio, Yezu waffw nga weekweka!
Era ne mu Tabernakulo, tukkiriza: Ggwe Kabaka.
8.    Ng’otudde ku ddyo ogwa Kitaawo, Abamalayika bonna;
Bakusinza mu kitiibwa kyo, ne bayimba nti; Kabaka.

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password