ABALIMU NJU YA DAUDI

ABALIMU NJU YA DAUDI (Fr. V.F. Bakkabulindi)

 

  1. Abali mu nju ya Daudi Katonda abaagala:

Muli bakulu, muvuddemu Omulangira,

Kigambo afuuse omuntu olw’okutulokola,

Ye Yezu Kristu, Omulangira ow’eddembe,

Ye Yezu Kristu, Omulangira ow’eddembe.

 

  1. Wuliriza, Israeli…..Ebiwoobe bikome awo tuli mu ddembe

Abakristu, mumuyimbire….Temwekunya mumusinze Yezu Katonda

Y’Oyo eyalangibwa Katonda Omwana….Temwekunya mumusinze..

Katonda yeebale okujja ewaffe…Temwekunya mumusinze…

 

  1. Atuuse Omulokozi………………….Ekkubo erituusa mu ggulu

Ensii no agirunngamye………………Ekkubo erituusa mu ggulu

Ng’atuwonya eizikiza                                               “

Yezu gwe ngoberera                                                 “

Mu byonnna y’andagirira                                       “

Obuddu mubukulike!                                                “

Olwa Yezu Omusuubize                                           “

 

  1. Zivuge nnyo,         zivugennyo enngoma mu lubiri…………….x2

Ebiwoobe bikome awo mujje tumusinze.

 

Tukuze nnyo            tukuze nnyo, Amazaalibwa g’Omukama…..x2

Ebiwoobe bikome awo mujje tumusinze.

 

Buli lw’Ajja,            buli lw’Ajja atunaaza n’atutukuza…………x2

Ebiwoobe bikome awo mujje tumusinze.

 

Tufube nnyo,           tufube nnyo okugoberera Omulokozi………x2

Ebiwoobe bikome awo mujje tumusinze.

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password