Bannange tusituke twanirize amawulire ag’essanyu, ag’omwana atuzaaliddwa.
Bannange tujaguze tusagambize ffe abaana ba katonda olw’omulokozi atuweereddwa
Tuyimbe tujaguze anti tununuddwa, Alleluia azaaliddwa, Alleluia tununuddwa
Alleluia atuweereddwa tuyimbe alleluia.
Omwana Yezu azaaliddwa wamma laba ky’ekitangaala Enzikiza eyatutta obwedda
Wamma laba esanguddwa.
Omwana Yezu kye kitangaala eky’emirembe egy’olubeerera. Ate nga mwana wa
Katonda ddala omu bwaati bwa namunigina. Azze mu ffe atulungamye atuwe
Obulamu obw’olubeerera. Kati nno naffe tumwanirize tumutonere emyoyo gyaffe.