AMALOBOOZI AMANYUVU AGA BAMALAYIKA

AMALOBOOZI AMANYUVU AGA BAMALAYIKA

BASS: A…… Alleluiah, Alleluiah, Amazima tuyimbe ffenna nti Alleluiah

A…… Alleluiah, Alleluiah, Amazima

Amaloobozi amanyuvu aga Bamalayika ge tuwulira gatugamba ki?

Amazima, Amazima, Alleluiah.

Amazima, Amazima, Alleluiah.

Amazima, Amazima, Alleluiah.

Amazima, Amazima, Alleluiah.

 

(A):     NTI Omulokozi Azaaliddwa Olwaleero!

AL ….. LELUIAH  x2. Nti Omulokozi azaaliddwa Olwa leero

Ensi eno gwe yalindirira edda azaaliddwa

Omwana YEZU wuuno abange azaaliddwa.

 

(B):     Ekiri mu Ggulu kya ttendo,            Ky’ekyo Ddala.

Omutonzi atiibwa                                  Ky’ekyo Ddala

Ensi eri bulala lwa mwana                   Ky’ekyo Ddala

Yee Katonda mulungi                            Ky’ekyo Ddala

Ssinga mmugoberera nga ntuuse        Ky’ekyo Ddala

Yee, olwo nga ndokose                           Ky’ekyo Ddala

 

Nga Kitaffe mulungi

Okusindika omwana anaatuyamba mu ntalo zaffe okulwanyisa amaanyi

Nga Kitafee mulungi

Okusindika YEZU KATONDA N’asula mu ffe sso nga tuli boonoonyi

Oh, Yezu Omwana: x2

 

(A):     Alleluiah – Alleluiah x2

Tuli mu kwesunga Obwakabaka bwo Tuli mu kwesunga.

Katunyiikire Alleluiah x2.

Tuli mu kwesunga Obwakabaka bwo Tuli mu kwesunga

Alleluiah – Alleluiah x2

Tuli mu kwesunga Obwakabaka bwo Tuli mu kwesunga.

Katunyiikire Alleluiah x2.

Tuli mu kwesunga Obwakabaka bwo.

Tuli mu kwesunga Obwakabaka bwo, Tuli mukwesunga.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *