AWABA OKWAGALA (Fr. James Kabuye)

Ekidd.: Awaba okwagalana n’okwagala
Awo Katonda abaawo.

1.Okwagala kwa Kristu kwatugatta wamu Awo Katonda abaawo
Tujaguze era tukusanyukiremu ffe ,, ,,
Katonda omulamu tumutye era tumwagale Ffe tumwagale ne mu mitima gyonna obutalekaamu. ,, ,,

2. Awo nno bwe tukunngaanira awamu ,, ,,
Twekkaanye, tuleme kwawukana mu birowoozo ,, ,,
Ennyombo embi zikome n’empaka zikomere ddala ,, ,,
Kristu Katonda abeere mu makkati gaffe. ,, ,,

3.Era tulabire wamu n’Abatuukirivu ,, ,,
Ayi Kristu Katonda, amaaso go mu kitiibwa ,,
Essanyu eritapimika era eddungi ,, ,,
Emirembe n’emirembe gyonna egitaggwaawo. Amiina.

DOWNLOAD LINK:
AWABA OKWAGALA

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *