AZZE OMUNUNUZI

AZZE OMUNUNUZI (Fr. Expedito Magembe)

Ekidd:             Azze omununizi atuuuse, Azze Omulokozi owaffe

                        Azze! Azze! Omulokozi Kristu omusuubize atuuse

                        Azze atumulise n’amazima.

                        Azze atumulise n’okumanya

                        Azze tugabane ku bwa Katonda obw’oyo

                        Agabanye ku bw’omuntu.

 

  1. Kristu leero omulimo gwe yakola ng’afuuka omuntu

Atuzze buto kati gulabise,

Ffe ababadde ab’okufa tuzze buto tuli balamu mu ye.

 

  1. Kristu leero omulimo gwe yekola ng’afuuka omuntu

Atuzze buto kati gulabise,

Ffe ababadde abagobeddwa tuyitiddwa tuli balamu mu ye.

 

  1. Kristu leero omulimo gwe yekola ng’afuuka omuntu

Atuzze buto kati gulabise,

Ffe ababaddeabatawana tuwonyezeddwa, tunyiridde mu ye.

 

  1. Kristu leero omulimo gwe yekola ng’afuuka omuntu

Atuzze buto kati gulabise,

Ffe ababadde aba wansi, tusituddwa,

tuli ba Mukama oyo.

DOWNLOAD LINK:

AZZE OMUNUNUZI PDF

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *