AZZE OMWAGALWA WAFFE

AZZE OMWAGALWA WAFFE (Fr. Joseph Namukangula)

 

Ekidd:                        Azze Azze omwagalwa waffe

                        Omununuzi tuli naye

                        Ye Mwana wa Taata

                        Ssabalangira atuuse

                        Omwana omwagalwa ow’eddembe

                        Ffe ka tumuwe ettendo mu ggulu ne mu nsi

                        Atuuse omwagalwa ow’eddembe.

  1. Azze omununuzi ava wa Kitaffe (Katonda)

Azze okujuna aggye mu kisa kye (Azze)

Ndabira wa omutonzi wange.

  1. Bonna abalanzi bamulaanga (Katonda)

Nti oyo alizaalibwa e Betelemu (Azze)

Y’alirokola amawange gonna.

  1. Yozefu omwagazi omukumi w’oyo (Katonda)

Maria embeerera muzadde w’oyo (Azze)

Banamukisa teri absinga.

  1. Omwana atwagala azze lwa kuba ffe (Katonda)

Azze atubeeremu omusumba owaffe (Azze)

Ye mulambisi atulambika eka.

  1. Enzikiza n’ennaku bigende

Anaabimalawo atuuse ye mulngira ow’eddembe

Emmunyeenye y’amawanga gonna

Azze wuuno oomlngira ow’eddembe.

(Azze ow’ekitiibwa)

  1. Obukyayi n’entalo bigende

Anaabimalawo atuuse, ye mulngira ow’eddembe

Ye mukwano gw’abatonde bonna

Azze wuuno omulangira ow’eddemmbe.

(Azze ow’ekitiibwa)

  1. Amasabo n’ensawo mubokye

Nnyini bulamu atuuse ye mulangira ow’eddembe

Ye Katonda eyatonda ffena

Azze wuuno omutonzi w’eggulu n’ensi.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *