BWALI KIRO

BWALI KIRO (W.F)

  1. Bwali kiro,

Mu bw’empewo

Omwana wa patri

Nnyini ggulu!

Nakka ku nsi

E Betelemu

 

  1. Bwali kiro

Mu kisibo

Nga bwakutte dda

Ekitalo

Amangu ago,

Ne butangaala.

 

  1. Ne Maria

Ne yewuunya

Ngalaba omwana

Ng’azaaliddwa

Talumiddwa

Yadde okusinda.

 

  1. Ne Yozefu

Najja mangu

N’ayalirawo

Nnyini ggulu

Mu kabanvu

Awone empewo.

 

  1. Malayika

N’abagamba

Nti Mirembe

Kristu azze

Ssanyu lya bonna.

 

  1. Abasumba

Ne beeyuna

Eri omwana;

Baamusanga

Ne Maria

Ne bamusinza

 

  1. Noel! Noeal!

Emmanuel

Azze mu bantu

Mujje mu bantu

Ali kumpi

Mu Ssakramentu

DOWNLOAD LINK:

BWALI KIRO PDF

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *