E BETELEMU ABASUMBA
E BETELEMU ABASUMBA (M.H.)
- E Betelemu abasumba
Tibeebaka na ku tulo
Balunda endiga ku ntunnumba
Gye bayotera omuliro
Amangu ago ne wajjawo
Malayika w’omu ggulu
Ayaka ng’ayimiridde awo
N’abajjuza entiisa enzibu.
- Ko ye nti”Mwenna mutereere
Essanyu libunye mu nsi
Katonda, nga mwana omuwere,
Asuze mu mpuku muli”
Banne bangi nnyo ne bakwanya
Ennyimba ez’okwaniriza
Katonda gwe yabalagaanya
Asana okusanyukirwa.
- Ko bo nti”Tuwulidde ekyama
Ka twebaze Nnyini ggulu!
Tugende tunoonye Omukama
Mu mpuku y’e Betelemu
Awo ne basanga omuzadde
Ng’atiitiibya akaagalwa ke
Bonna ne batenda ayagadde
Okwefuula omuntu nga ffe.
- Ayi Yezu, ffena tukusinza,
Tuzze okukugulumiza;
Tukkiriza ggwe ow’obuyinza,
Asula mu bwavu obusa.
Ayi Yezu Mulokozi waffe,
Asaasidde abantu bonna,
Kabaka ggwe, Nnannyini byaffe
Tufuge emirembe gyonna!
DOWNLOAD LINK:
0 Comments