KIGAMBO EYALIWO OBW’EDDA

KIGAMBO EYALIWO OBW’EDDA (Fr. James Kabuye)

 

Ekidd :kigambo eyaliwo obw’edda,

Omwana wa katonda gw’azaala,

Yeefudde omuntu nga ffe n’azaalwa

Ku nsi eno n’abeera ewaffe.

 

  1. Tumwebaze nnyo oyo kitaffe, atuwadde bw’atyo omwana

We leero byonna abituwadde mu Mwana we, ffena atununudde

Ng’asindika kristu omununuzi.

 

  1. Tumwebaze nnyo oyo kitaffe,y’amutumye ajje awonye bonna.

Ffena atununudde mu mwana we leero tekitendwa

Avuddeyo Kristu omusaasizi.

 

  1. Tumwebaze nnyo oyo kitaffe, y’amuleese Yezu ajje amale

Byonna abimudde mu mwana we, byonna abimuwadde

Alamule kristu eggulu n’ensi.

 

  1. Tumwebaze nnyo oyo kitaffe, ayogedde naffe mu mwana we leero,

Mujje abantu mwenna abaagala, mujje abantu mwenna

Ayagala kristu ababeeremu.

 

  1. Tumwebaze nnyo oyo kitaffe, atusenze bwatyo mu mwana we

Leero ku nsi teri muntu atamanyi, ku nsi teri muntu atamanyi Ddunda anti

Mununuzi.

DOWNLOAD LINK:

KIGAMBO EYALIWO OBW’EDDA PDF

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *