LEERO AZAALIDDWA KRISTU (Fr. James Kabuye)
Ekidd : leero azaalidwa wamma twejage,
Y’ono omuto Kristu mu mmanvu
Mujje twejage kristu atuuse (kabaka)
Mwanguwe, mwanguwe, Kristu atuuse*2
- y’ono gwe baalanga obw’edda
Kristu azaaliddwa n’ajja eno ku nsi
Omwana mulindwa wuuno, omwana wuuyo patri
Omwana mulindwa wuuno, katonda mwana atuuse.
- Mujje tweyanze ono kabaka
Kristu azaaliddwa eyatonda byonna
Ye mwana, ye mwana wuuno,
Azaaliddwa mu bwavu(*2)
- Atwagala oyo kitaffe
Anti ateesezza ffena atujune
Awadde ensi eno omwana
Y’anaatuwonya ennaku (*2)
- Otwgala mu ngei nsuffu
Kristu azaaliddwa ku lwaffe ffena
Otuuse, otuuse kristu
Ozaaliddwa mu bwavu. (*2)
- Mujje gwe twalindanga obw’edda
Wuuno azaalidwa lw’azze tusinze
Omwana, mwana wuuno,
Katonda mwana atuuse. (*2)
DOWNLOAD LINK: