MBUUZA ABATAKA

MBUUZA ABATAKA (Mr. Joseph Kyagambiddwa)

  1. Mbuuza abataka b’e Buyudaya

Ne mbayita basseruganda, mumpulire: –    Yee!

Kristu alizaalibwa wa?                               Betelemu gye yalangwa

Omulangira Yezu gy’lizaalibwa

  1. Nzize ngubagguba nkulemberwa mmunyeenye

Nga emmulisiza ekkubo: –                          Yee!

Ng’eboneka lw’oyo: Omuwere omwana.   Betelemu gye yalangwa

Omulangira Yezu gy’lizaalibwa

  1. Anti amazima obutalimba, lwa ssanyu

Waggulu kitiibwa nnyo! Alleluiah leero: –  Yee!

N’emirembe kunsi.                                     Betelemu gye yalangwa

Omulangira Yezu gy’lizaalibwa

  1. Azze Omununuzi, muwulire ensinda anti

Ennyonyi empunna-malungu eragula ewuuna:    Yee!

Anti Omulokozi azze.                                 Betelemu gye yalangwa

Omulangira Yezu gy’lizaalibwa

  1. Maria nkulamusa, Nnakawere Maama

Kulika kuzaala, Taata Yozefu mwembi      Yee!

Mundage ku mwana.                                  Betelemu gye yalangwa

Omulangira Yezu gy’lizaalibwa

  1. Ddala eno Nowere, mulembe muggya guno

Bampe omuliro ebikadde mbyokye kati byonna. Yee!

Alleluoah ffenna.                                        Betelemu gye yalangwa

Omulangira Yezu gy’lizaalibwa

  1. Eh……… M Eh!  M!  Eh! M  Eh… M

Yee!

Betelemu gye yalangwa

Omulangira Yezu gy’lizaalibwa

DOWNLOAD LINK:

MBUUZA ABATAKA PDF

 

 

 

 

 

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *