MBUUZA ABATAKA by Joseph Kyagambiddwa
- Mbuuza abataka b’e Buyadaya ne mbayita basseruganda mumpulire, (yee!) Kristu alizalibwa wa? Beteremu gye yalangwa Omulangira Yezu gy’alizalibwa.
- Nzize ngubagguba nkulemberwa mmunyeenye nga emmulisiza ekkubo, ng’eboneka lw’oyo (yee!) Omuwere Omwana. Beteremu gye yalangwa Omulangira Yezu gy’alizalibwa.
- Azze Omununuzi muwulire ensinda, anti ennyoyi empuunamalungu eragula ewuuna (yee!) anti Omulokozi azze. Beteremu gye yalangwa Omulangira Yezu gy’alizalibwa.
- Maria nkulamusa Nnakawere Maama, kulika okuzala, Taata Yozefu mwembi, (yee!) Mundage ku Mwana. Beteremu gye yalangwa Omulangira Yezu gy’alizalibwa.
- Ddala eno Nnowere mulembe muggya guno! Bampe omuliro ebikadde mbyokye kati byonna, (yee!) Alleluya ffenna. Beteremu gye yalangwa Omulangira Yezu gy’alizalibwa.
- Eh!… Eh! Beteremu gye yalangwa Omulangira Yezu gy’alizalibwa.
0 Comments