MU KYALO KYE BETELEMU (M.H.)
- Mu kyalo eky’e Betelemu,
Mu tuumbi waaliwo entiisa,
Bonna abaali awo nga bakuuma
Ezaabwe endiga enkumu
Okutemya ng’atuuse wuuno,
Malayika azze ng’eraddu,
Amyansa ng’ayimiridde awo,
Ku olwo baatya ekintu ekiggya.
- Mwenna essanyu bw’atyo bw’agamba
Malayika ajjudde essanyu
Mu mpuku Yezu gy’ali, Mwana
Messia eyalaangwa ab’edda
Banne bangi ku olwo beegatta
Nga bayimba ennyimba empoomu
Azze Omulagaanye wa bonna
Ssanyu lingi, Alleluiah.
- Bonna nti: Tuwulidde ekyama,
Ffe tweyanze wamma ssanyu
Tugende twesooke eri Omwana
Eyo gy’ali mu bwavu atyo
Mu mpuku eyo gye baamusanga,
Yozefu, Maria n’ente
Nga bamusinza oyo eyalondawo
Okwefuula omuntu nga ffe!
- Ffenna ayi Yezu tukusinza,
Ozze mu ffe oli nga Omwana,
Tumanyi bw’oli ow’obuyinza,
Naye osiimye obe mwavu ggwe
Yonna ensi eno ggwe wagiyamba
Nga weefula omuddu nga ffe.
Kabaka eyatonda byonna fuga,
Tukwewa obeere mu ffe.