MUJJE MMWE TWEJAGE (M.H)
- Mujje mmwe twjage, lwa ssanyu lwa ttendo
Tulamuse Yezu ono ali mu mmanvu omwo.
Njuba eyaka wuuno anti, lw’azze atwakidde
Tuva gy’ali eyo: Tudda gy’ali eyo x2
- Ayi Yezu omuto, ozze ewaffe abaavu
Ofuuse mwavu olwaffe, ozaaliddwa okwaffe,
Yezu Katonda otuuse, ggwe ozze tulokole.
Ye ggwweEmmanuel tuula ggwe mu ffe. X2
- Kitaffe saasira, kuba Yezu atuuse
Tubadde n’ennaku anti olw’ebibi eby’edda
Yezu Messiya atuuse ku nsi atulokole.
Tukyaye byonna, saasira Ddunda. X2
- Essanyu lijjula, bonna ababa w’oli
Bonna abali eyo naawe bayimba nnyo nnyini
Ggwe Yezu mpa okubeera, mu kwesiima ffembi
Kristu ndokola, yamba nze omwavu. X2
DOWNLOAD LINK: