Mulokozi azaaliddwa
Mulokozi azaaliddwa! Tujaganye, tujjule essanyu;
Mulokozi azaaliddwa! Leero tujaguze ffenna.
- Atuuse gwe twalindanga!
Ennaku leero ziwedde;
Atuuse gwe twalindanga!
N’Abalanzi gwe baalanga.
- Atuuse omwagalwa waffe,
Omulokozi w’abantu
Atuuse omwagalwa waffe,
Ye wuuyo wano mu mmanvu
- Azazikibwa Maria,
Mu mpuku e Betelemu;
Azazikibwa Maria,
Ye Katonda, Nnyiniggulu.
- Abasumba abayitiddwa,
Timulwa, mugende gy’ali;
Abasumba abayitiddwa,
Muli baavu nga ye bw’ali.
- Mwanguweeko Bakabaka
Mugoberere emmunyeenye
Mwanguweeko Bakabaka,
Musinze Mukama wammwe.
- Yezu, tukwegayiridde,
Ayi omwagazi w’emyoyo
Yezu, tukwegayiridde,
Otuyiire emikisa gyo.
DOWNLOAD LINK: